IGP Ochola yekanze CID eyakwatibwa okubba ebizibiti nga ali mulusirika

Inspector General of Police, Martins Okoth-Ochola, olunaku lweggulo kyamuweddeko bweyalabye omusirikale wa Poliisi Assistant Superintendent of Police Alexander Niwagaba gyeyabadde alowooza nti ali mu komera olw’okubba ebizibiti nga azze mu lusirika lwa ba CID.

Ochola eyabadde ayogerako eri ba CID kubikwatagana n’empisa n’obwesimbu, nayogera ku linnya OC CID owa Disitulikiti y’e Kiruhura nga amujurizaako nti yakwatibwa era nasibibwa ku bikwatagana n’okubba ebizibiti wabula nebamutegeeza nti oyo naye yabadde mu lusirika luno lwennyini.

Yabuuzizza oba waali ayimirire, omusirikale kyeyakoze, IGP kwekumutegeeza nti yabadde tamusuubira kubeerawo mu lusirika olwo. Yamubuuzizza ani yamuyimbula mu kaduukulu nti era oba nga yateebwa ku Police Bond.

IGP yalagidde omusirikale ono aweebwe akazindaalo ategeeze banne kyeyakola ekyamutuusa okukwatibwa.

Omusirikale yategeezezza nti yakola ensobi mu musango ogumu natawaayo bizibiti ebyali byakwatibwa Poliisi ku musango ogwagobwa kkooti.

Ono yali yakwatibwa ku bigambibwa nti yatunda ente ezaali ku Poliisi ye nga ebizibiti era ensimbi zino nazikozesa ebibye.
Wano IGP yakyuukidde alondoola emirimu gy’aba CID mu bbendobendo ly’e Rwizi, Regional Criminal Investigations Commander namusaba amunnyonyole engeri ono gyeyazeemu mu lusirika luno so nga ate akyavunaanibwa.

 

Leave a Reply