Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda n’ensonga zabazirwanako Vincent Ssempijja yavuddeyo nategeeza Palamenti nti okutuuka ekikeerezi kyavudde ku kalippagano k’ebidduka ku luguudo lwa Jinja Road olwokuba luli mu kudaabirizibwa. Ono yategeezezza nti kyamutwalidde essaawa nnamba okuva e Mbuya okutuuka ku Palamenti yadde nga alina obugombe bw’emotoka z’eggye lya UPDF n’emotoka eggulawo ekkubo.