TETUJJA KUSOBOLA KUBEERAWO;
Ebibiina ku ludda oluvuganya Gavumenti byongedde okuvaayo nebitegeeza nga bwebitagenda kwetaba mu Lukiiko lwa IPOD olugenda okubaayo olunaku lw’enkya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mwagenda okwogerere nga Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM.
Hon. Asuman Basalirwa, Pulezidenti wa JEEMAnaye yegasse ku
Forum for Democratic Change – FDC okutegeeza nti tagenda kubeerayo.
Bweyali alangirira Olukiiko luno ku Monday, Secretary General wa NRM Justine Kasule Lumumbayalaga ensonga ez’enjawulo ezigenda okwogerwako.
JEEMA egamba nti ebyateesebwako omwaka oguwedde tebiteekebwa nga mu nkola, nti era tebaweereddwa budde bumala kwetegeka.