Okuwandiisa abantu abagenda okuvuganya ku kujjuza ekifo ky'omubaka mu Palamenti owa Jinja ey'obuvanjuba kutandise olwaleero .
Kinajjukirwa nti ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lwa kkooti ejulirwamu okugoba Nathan Igeme Nabeeta owa NRM mu kifo kino nga kalumanywera yava ku Munnakibiina kya FDC Paul Mwiru oluvannyuma lw'okwekubira enduulu nga awakanya ebyava mu kulonda.
Omusasi waffe Solomon Baleke atuwadde embeera eri mu kibuga Jinja n'atutegeeza nti owa FDC Paul Mwiru olumalirizza okwewandiisa n'atalaaga ekibuga Jinja ne namungi w'abawagizi be nga bayisa ebivvulu so nga ate bo abawagizi ba Nabeeta owa NRM bagumbye mu kibuga ky'e Masese awagenda okubeera olukungaana gaggadde.