JUNE 8, 1998 ABAYEKERA BAYOKYA ABAYIZI ABASOBA E KICHWAMBA

Abayizi abasoba mu 50 bayokebwa ku ttendekero lya Kichwamba Technical Institute mu Kabarole district mu bisulo byabwe abayekera ba Allied Democratic Forces. Abayizi abasoba mu 80 bebabula nga kirowoozebwa nti bandiba nga bawambibwa nebetwalibwa abayekera.

Ettendekero lino lyalumbibwa nga 8-June-1998 ku ssaawa nga kkumi n’emu n’ekitundu ez’okumakya abayekera ba ADF nga kirowoozebwa nti baali baagala kuwamba bayizi. Abayizi besibira mu bisulo nebagaana okugulawo ekyanyiiza abayekera nebakuma omuliro ku bisulo by’abayizi bisatu ku ebyo omusanvu omwali ekisulo kya Kahaya, Rukidi ne Balya byonna nebisirikka.

Abaana bano bayokebwa nga era emirambo gyabwe gyali tegikyategeerekeka, Abayekera bano basobola okuyingira ebisulo ebirala nebawamba abayizi nebadda mu nsozi za Rwenzori.

Leero giweze emyaka 20 bukyanga bayizi bano battibwa era nga abayizi 27 baziikwa mu ntaana eyawamu nga etunudde mu lusozi lwa Rwenzori. Eby’okwerinda byanywezebwa nga kati waliwo Detach ya magye ku ttendekero kwennyini.

Leave a Reply