Kabaka wa Buganda asazewo okutwala Minisita omubeezi owebyettaka Sam Mayanja mu kooti olwo kuvoola n’okumutyobola buli kaseera omuli nokuyisa ebiragiro ku ttaaka lye erye Kaazi erisangibwa mu district ye Wakiso ebimenya amateeka.
Minisita Sam Mayanja ono azze alabwako nga ayogeerera Obwakabaka ebikikinike nga ne gyolyabalamu yalabwako ku ttaka lye Kaazi gyeyategeereza nti si ttaka lya Kabaka, nalagira ne kitongole kya Buganda Land Board ekiddukanya ettaka ly’Obwakabaka kisazibwemu nti tekiriwo mu mateeka.
Obwakabaka buzzemu okulungamya nti ettaka lino lya Kabaka era nsonga enno kooti enkulu mu mwaka 2020 yayongera okugikaatiriza mu musango ogwatwalibwayo Omulangira Herny Kalemera Kimera gweyali atutteyo ne banne nga bagamba nti ettaka si lya Kabaka wa Buganda.
Obwakabaka bulambise nti ettaka lino eriweerako acres 120 lya webwa abasikawutu mu mwaka 1948 bakolereko ebyobusikawutu byabwe, wabula nga tebaawebwa lukusa lwonna kutunda oba kusalasala mu ttaka lino, nga bwebakola.
Ssabawolereza w’Obwakabaka Owekitibwa Christopher Bwanika agamba nti abantu bonna abalina ebyapa ku ttaka lino, babirina mu bukyamu kuba commissioner we byettaka yabisazamu dda, nasaba ababirina okujja e Mengo bongere okulungamizibwa.
Mu ensisinako ne banamawulire ku Bulange Mengo, Owekitibwa Christopher Bwanika ategezeza nti bakooye minister Sam Mayanja okuwabya abantu olwebigendererwa bye nga omuntu ebitamanyiddwa, kwekusalawo bamutwale mu kkooti nga omuntu.
Mu ngeri yeemu Owekitiibwa asabye abantu bw’Obwakabaka obutawuddiisibwa bantu nga bano abenoonyeza ebyaabwe era abaliwo okutattana ekitiibwa ky’Obwakabaka, wabula bawulirize ekiva embuga buli kaseera kwebaba batambulira.
Ye munanateeka era nga ye mwogezi wa Buganda Land Board Denis Bugaya agambye nti okusinziira ku ebikolwa bya minister Sam Mayanja, babusaabusa oba yasoma amateeka.
Bugaya abulidde Banamawulire nti buli kyetagisa okutwala Minister Sam Mayanja mu kooti kiwedde era basubira nti obujjulizi bwebalina bumala bulungi okumusingisa omusago guno.
Munnamateeka Bugaya ategeezezza nti tebagenda kutunula nga abantu nga Sam Mayanja bawabya abantu ba Kabaka bakubakolako nga amateeka bwebagamba.
#ffemmwemmweffe