Kabaka aveeyo ku nsonga za Kooki – Ndawula

Obwakamuswaga bw’e Kooki bwanukudde Katikkiro Mayiga bye yayogeredde mu lukiiko lwa Buganda ku Mmande nti bwe kiba ng’ensonga z’e Kooki za kyana kito, lwaki yatutte ensonga ez’ekyana ekito mu lukiiko lwa Buganda.
Ndawula yannyonnyodde nti Obwakamuswaga bulambikiddwa mu Konsitityusoni ng’obufuzi obw’ensikirano era buli nnamba mukaaga ku lukalala n’awa Katikkiro Mayiga amagezi nti nga Munnamateeka asome konsitityusoni’’.
Yannyonnyodde nti obuzibu obuliwo tebuli wakati wa Buganda ne Kooki wabula buli wakati w’obukulembeze bwa Mayiga kubanga okuva emabega ku Katikkiro Mulwanyammuli okutuukira ddala ku JB Walusimbi, enkolagana ebadde nnungi wakati wa Mmengo n’Obwakamuswaga.
“Kooki kitundu ky’abantu ab’amawanga amagatte, eriyo Abaziba, Abanyankole, Abaganda n’abalala era bonna bawulize eri Kamuswaga ne Ssaabasajja kyokka waliwo abantu abeenoonyeza ebyabwe abaagala okutabula enkolagana eyo”, Ndawula bwe yagambye.
Yagambye nti ab’e Kooki baagala nnyo Kabaka era bamussaamu ekitiibwa wabula ab’e Mmengo abamu nabo balina okussa ekitiibwa mu Kamuswaga kubanga mukulembeze wa nsikirano ne mu Konsitityusoni mwali’’.
Ndawula yabuuzizza lwaki Katikkiro Mayiga bw’aba agenda e Buddu, asooka kutegeezaako Pokino n’amutegekera obugenyi kyokka bw’aba agenda e Kooki tagoberera mitendera gye gimu ne basoola okumutegekera olugendo lwe.

Leave a Reply