Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde nnyo abantube abakoseddwa ekirwadde kya coronavirus mu Uganda ne mu mawnaga amalala.
Bwabadde ayogerako eri Obuganda olwaleero mu Lubiri lw’e Mmengo, Kabaka agambye nti singa abantu bawuliriza obubaka obubaweebwa eb’ebyobulamu obulwadde bwa coronavirus bwewalika.
“Tusaasira nnyo eb’engganda z’abantu baffe Bannayuganda abafudde obulwadde buno mu mawanga ag’ebweru.
Tuteeka mu ssaala naabo abakyali mumbeera embi mu mawanga ago bassuuke.
Twebaza nnyo abasawo abali ku mwanjo gw’okulwanyisa obulwadde buno obugoyezza ennyo ensi yonna,” Kabaka bweagambye.
Omutanda yasabye gavumenti eyongere okussa essira mu by’obulamu mu ggwanga lyonna okusobola okwenganga okusoomoozebwa kwendwadde enkambwe nga coronavirus.
Yasabye abantu nti obulwadde nebwebuba bukomye, bagende mumaaso n’okukuuma obuyonjo ng’agamba nti endwadde ezisinga okuluma abantu zewalikwa singa abantu baba bayonjo.
Kabaka era yasiimye abantu bonna abalina kyebawaddeyo okuyamba abo bakoseddwa ekirwadde kino.
Kabaka wiiki eno yawaayo obukadde 100 okusobola okudduukirira Bannayuganda abakoseddwa ebiragiro ebyateekebwawo gavumenti okusobola okutangira okusaasaana kwa COVID-19.
Yasabye n’abasuubuzi okukomya okuduumuula emiwendo gy’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo n’agamba nti abantu tebajja kusobola kubyetuusaako ku miwendo eminene.