Waliwo omukazi atategeerekese mannya ge afiiriddewo embulaga oluvannyuma lwa Bodaboda kw'abadde avugirwa okutomerwa emmotoka kika kya Noah mu kibuga ky'e Lugazi.
Omusasi waffe Livingstone Mpiima e Lugazi atutegeezezza nti Bodaboda omukyala ono kw'abadde atambulira n'emmotoka ebatomedde byonna bibadde biyingira kubuga kya Lugazi nga biva Kampala ewabula ye omugoba wa Boda asimattuse akabenje kano era n'addusibwa mu ddwaliro ekkulu e Kawolo ng'apookya na biwundu.
Deo Mbabazi Mayor wa Munisipaali y'e Lugazi akakasizza akabenje kano. Kitalo !!