Omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti, John Muwanga akwasizza Sipiika
wa Palamenti, Rebecca Kadaga lipooti ey’omwaka 2018 omuli ssente
z’omuwi w’omusolo ezibulankanyiziddwa Minisitule, ebitongole
n’amakampuni ga Gavumenti era neyennyamira olw’ebbanja eddene
eribanjibwa Gavumenti.
Yasinzidde mu ofiisi ya Kadaga ku Palamenti
n’alaga okutya olw’ebbanja eddene eribanjibwa Gavumenti ya Uganda.
Ssente ezaali biriyoni 33.99 mu June wa 2017 zaalinnya okutuuka ku
biriyoni 41.5 we lwatuukira nga June 30, 2018. Mu kiseera kino ssente ezibanjibwa Uganda zikola ebitundu 41 ku bungi bwa bajeti ya Yuganda yonna.
Obuzibu obulala buli ku bukwakkulizo obuteekebwa ku ssente ezeewolebwa
omuli okubeera nga bamusigansimbi tebaggyibwako musolo ku bintu bye baba
bakoze n’obutakkiriza kukozesa mateeka ga Yuganda nga bakola endagaano.
Muwanga yalaze nti wadde Gavumenti yasindika ez’okusasula akasiimo eri
abaali abakozi ba Gavumenti, kyokka omwaka oguwedde we gwaggweereddeko
ng’ebitongole bya Gavumenti ne Gavumenti z’ebitundu balemeddwa okusasula
ssente z’akasiimo ezisukka biriyoni 65.
Ssente ezo zazzibwaayo mu
ggwanika lya Gavumenti nga kino kiba kitegeeza nti abalina okuzifuna
tebaliiyo oba balina okulindako okuzifuna. Ku ssente eziwolebwa
abavubuka mu nkola ya ‘Youth Livelihood Program’ yagambye nti wadde nga
Gavumenti yali esuubizza okuteeka obuwumbi 231 mu nkola eno we
gwatuukira June w’omwaka oguwedde, kyokka obuwumbi 161 zokka ze
zzaateekebwamu .
Kino kyavaako omuwendo gw’abavubuka abaali basuubirwa okuganyulwa okubeera 195,644 mu kifo kya 286,200 abaali basuubirwa.
Abavubuka bangi be bawola ssente tebazizzaayo nga ku buwumbi obusoba mu
38 ezaaweebwa abavubuka wakati wa 2013 n’okutuuka 2015, ssente eziwera
ebitundu 26 ku buli 100 zokka ze zaasasulibwa.
Muwanga era
yennyamidde olwa Gavumenti okulemwa okubanja obuwumbi obuwera 20 z’ezze
ewangula mu misango egy’enjawulo we lwatuukira olwa June 30, 2018.
Lipooti era yalaze nti ettaka lya Gavumenti abantu bazze balyesenzaako
awatali abakuba ku mukono.
Ettaka ly’ebitongole okuli erya Poliisi,
ekitongole ky’amakomera, n’erya Minisitule y’ebyobulimi lye basinze
okusengako. Ekirala ekyewuunyisa mu lipooti kwe kuba nga ku bitongole
bya Gavumenti ebiwera 27, kuliko ebitongole 17 byokka byebyakola
amagoba.
Ekitongole kimu kyokka kye kyasobola okwanjula amagoba ge
kyakola eri Gavumenti. Kaweefube w’okutaasa entobazzi akyali nafu, kuba
wadde Gavumenti yalagira dda okusazaamu ebyapa ebiri mu ntobazi, kyokka
minisitule y’ebyensimbi tennaba kuwaayo ssente kuteekesa kino mu nkola.
Kadaga yasiimye ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti
olw’omulimu gwe bakola. Yalaze okutya olwa Gavumenti obutafaayo ku ttaka
lyayo, n’awa eky’okulabirako nti mu 1990 baayisa ekya Gavumenti
okufunira ebyapa ku ttaka lyayo lyonna naye tebakifangako