Kadaga alagidde amasomero ga Gavumenti aga Pulayimale gabalibwe

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu, Rebecca Alitwala Kadaga alagidde akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza kafube okulaba nga amasomero ga Gavumenti gonna aga Pulayimale gabalibwa, kino kisobozese Gavumenti okukola embalirira ennungamu mu nteekateeka yaayo  ey’oteekawo ebifo eby’okubangula abaana okutandikira ddala ku myaka emito .

Kadaga agamba nti newankubadde nga enteekateeka eno yakkiriziddwa olw’obukulu bwayo mu kubangula  n’okuteekateeka emiti emito, naye teyinza kutandika nga tewali  bikozesebwa nga ebizimbe , abasomesa ate n’ebyokuzannyisa by’abaana bano eby’enkizo ennyo gyebali .

Ssipiika okwogera bino abadde ku Palamenti emisana gya leero nga afuna ebiteeso wamu n’ebirozoozo okuva mu kitongole ky’ensi yonna okivuggirira abaana ekya UNICEF byebaagala biteekebwe mu nteekateeka ya Gavumenti eri abaana bano , era mu bino mwemubadde n’okutunuulira eby’obulamu wamu n’endabirira nga eby’enkizo ennyo ku kusoma kwabwe .

Leave a Reply