kadaga mubanja ssente zenamukolerako – musamize

Omusamize Damiano Akuze nga ono mutuuze w’e Buwala, Buganda Zooni mu Lulyambuzi Parish mu Disitulikiti y’e Kamuli avuddeyo naddukira mu Kkooti enkulu e Jinja nga ayagala emuyambe ewalirize Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga amusasule ssente ze obukadde 200 zagamba nti yalina okuzimusasula oluvannyuma lw’okumukolera eddagala eryamuyamba okufuuka ow’amaanyi mu by’obufuzi emyaka 29 egiyise.

Akuze agamba nti nga September 1, 1990 Kadaga yagenda mu ssabo lye nga ayagala amuyambe era namukolera eddagala nerikola kyokka nagaana okumusasula.

Kkooti olunaku lweggulo yawandiikidde Kadaga ebbaluwa emuyita yewozeeko era oluvannyuma egyakuvaayo n’olunaku olw’okutandika okuwulira omusango.

Akuze agamba nti azze omukolako emirundi egiwera era nga muntandikwa yamusaba amuyambe amukoleko afune ekifo eky’amaanyi mu Gavumenti era avugibwe mu convoy nga Pulezidenti. Ono agamba nti Kadaga teyalina ssente mu kadde ako era nebakiriziganya nti bwalifuna omulimu ajjakumusasula.

Akuze agamba nti yakola ku Kadaga okumala enaku 2 era nga 3 September, 1990 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamuyita namuwa omulimu. Akuze agamba nti Kadaga yamusasulako akakadde kamu mu October, 2017 endala obukadde 204 nagaana okubusasula.

Akuze era agamba nti Kadaga yamusuubiza okumuzimbira ennyumba yabukadde 100, amugulira emotoka ekika kya Tipper yabukadde 60, ettaka lyabukadde 40 wamu n’ente 4 era nga bino biweza obukadde 204.

Ono agamba nti wakuleeta obujulizi nga okuwulira omusango kutandise obulaga nga bwabadde amukolako era nga amuwa n’eddagala okutuuse mu October 2017 era obwoleka nga Kadaga bwavudde ku ndagaano gyebakola.

 

Leave a Reply