Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yeeyamye okuyambako okusaba Gavumenti eweeyo emmotoka eziwedde ku mpagala eri amatendekero g’ebyemikono abayizi bazikozese mu kusoma kwabwe .
Obweyamo buno Kadaga abukoledde ku mukolo gw’abaddeko omugenyo omukulu ogw’okuggulawo Galagi mu ttenedekero lya St. Joseph’s Vocational Training Centre erisangibwa e Kamuli.
Sipiika agamba yawandiikira aba Minisitule y’ebyobulamu ku nsonga y’emmotoka enkadde ezitakyakola ng’ayagala zisindikibwe mu matendekero g’ebyemikono zeeyambisibwe abayizi mu kusoma kwabwe.
Sipiika ate nga mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kamuli ayongerako nti agenda kukwatagana ne Police alabe nga bafuna ku mmotoka eziremera ku Police oluvannyuma lw’obubenje.
Wabula Sipiika akubirizza abaana abawala okwenyigira mu masomo g’ebyemikono omuli okukanika emmotoka, okuvuga wamu n’ebyobulimi..