Owa UPDF asse Bannakenya ku nnyanja Nalubaale
5 — 07Bwetwogera ku busobozi tuba tetusosola – Hon. Ssemujju
5 — 07Amawano gagudde ku mu muluka gwe Kamusabi mu Kitimbwa Archdiocese mu Disitulikiti y’e Kayunga omusajja omufumbo bwakwatiddwa lubona mukyala we ngayesa empiki z’omukwano ne muganzi we ku wolutaali ya Bugonya Church of Uganda.
Najama Nasisege 21, yakutte bba Thomas Ndabalola 22 lubona ku wolutaali y’ekkanisa ku ssaawa bbiri ezekiro nga bamugabira ebyalo.
Najama yatiisizzatiisizza okunoba nga agamba nti kino kisusse era tasobola kukiguminkiriza. Ye Omubuulizi w’ekkanisa eno Aron Komugisha avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kuddamu kulinnya mu kkanisa eno okutuusa nga bagitukuzza okuyita mu kusaba wamu n’okusiiba kuba bano obukeeka babwesonedde ku wolutaali ya Mukama.
Bbo abakiriza baagala Ndabalola adaabirize entebe zeyamenye wamu n’eddinisa lyabamenye nga badduka.
Wabula bano bagamba nti guno sigwegusoose, babadde nga basangamu obupiira bu kakuuma bulamu obukozeseddwa.