Kamugisha eyali akulira ba Crime Preventers asuuliddwa Electoral Commission

Akakiiko k’ebyokulonda mu Ggwanga aka Electoral Commission Uganda kasudde Blaise Kamugisha abadde akwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM bendera ku kifo ky’abavubuka lwa kusussa mu myaka.
Kamugisha okusuulibwa kidiridde okwemulugunya okweteekebwayo abavubuka nga bakulembeddwamu Chris Moses Mufakinanye nga bagamba nti Kamugisha eyali akulira ba ‘Crime Preventers’ mu ggwanga mukulu nnyo nga tasobola kwesimbawo kukulira bavubuka.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama agamba nti Kamugisha eyalondebwa nga Ssentebe wa LC1 ow’ekyalo Rwencwera 1 era Council wa Bavubuka ow’omuluka gw’e Kyera nga akozesa National ID eraga nti yazaalibwa nga January, 6, 1990 nga kitegeeza nti ajja kuba asussa emyaka 30 egyetaagisa ku oyo alina okukiikirira Abavubuka.
Kigambibwa nti Kamugisha ne Mufakinanye baali bamukwano wabula nebawukana nga Kamugisha bweyali National Coordinator owa National Crime Preventers Forum, Mufakinanye yeyali omwogezi.
Okusinziira ku kawayiro 1(g) aka National Youth Council Act, cap 319, Omuvubuka ye muntu ali wakati w’emyaka 18 – 30.
Wabula etteeka lino ligamba mu kawayiro ka 8(9) omuntu oyo alina ekifo ku Youth Council tajja kuva mu offiisi eyo wadde nga anaaba awezezza emyaka 30 nga akyali mu offiisi okutuusa nga ekisanja kye kiweddeko.

Leave a Reply