Kanyamunyu bazzeemu okusaba okweyimirirwa

Omusuubuzi Matthew Kanyamunyu awamu ne banne bwebavunaanibwa, nga bateeberezebwa okubaako kyebamanyi ku kutemulwa kwa Kenneth Akena gyebuvuddeko, bazzeemu nate okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu mu Kampala.

Kanyamunyu avunaanibwa ne mukulu we Joseph Kanyamunyu wamu ne muganzi we Cynthia Munwangali nga bateeberezebwa okubaako kyebamanyi ku kuttibwa kwa Kenneth Akena eyali akola mu kitongole ky’obwa nnakyewa mu Disitulikiti y’ e Kasese .

Abantu bank baasooka kusaba kweyimirirwa  nga 10, Gatonnya omwaka guno mu kkooti y’emu mu maaso g’omulamuzi Elizabethan Kabanda nga ono yagaana okubakkiriza okweyimirirwa ng’agamba nti ensonga kwebaali basinziira okusaba okweyimirirwa tezaali za ssimba.

Wabula agava mu nsonda ezeesigika gagamba nti bano baalikomezebwawo mu kkooti ssabbiiti ejja.

Leave a Reply