Abatuuze bo mu Kawempe Mbogo mu Gombolola y’e Kawempe bavudde mu mbeera lwa kivundu kyakasasiro ekisusse. Abatuuze bano nga bakulembeddwamu Kansala waabwe ow’ekitundu Ssenono Danes basaasanyizza kasasiro mukubo nga bekalakaasa olw’ekitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA olwokwesulirayo ogwanagamba obutabayolamu kasasiro, bano bagamba KCCA ebasolozaamu emisolo mingi naye nga obuweereza tewali.
Kasasiro atutta, yo KCCA ekanya tulyamu musolo
