Kasirye Gwanga talabise mu kuteekebwako ennyota z’obwa Maj. General

Maj. General Kasirye Ggwanga olwaleero talabiseeko ku kitebe ky'amaggye e Mbuya ye ne banne abalala aba UPDF bwebaalinnyisiddwa amadaala gyebabadde balina okufunira ennyota zaabwe. 

Kasirye Gwanga who was last promoted in 2005 to the rank of Brigadiers, was last week elevated to Major General and also retired from the force. 

Munnanamagye Kasirye Ggwanga nga yasembayo okulinnyisibwa eddala mu mwaka gwa 2005 era nga wano yatuusibwa ku ddala lya "Brigadier'', ssabbiiti ewedde yalinnyisiddwa eddaala n'afuuka Maj. General era n'awummuzibwa mu magye.

Bwetwogeddeko n'omwogezi wa UPDF, Richard Karemire atutegeezezza nti Kasirye ggwanga yabadde yabategeezezza nga bw'atagenda kusobola kubaawo olw'obuvunaanyizibwa ebw'enjawulo obulala bw'agendako wabula kino tekirobedde mukolo kugenda mu maaso era abajaasi nkaaga mu omu nebateekebwako ennyota nga enteekateeka eno ekuliddwamu omuduumizi w'amagye General David Muhoozi.

 

 

Leave a Reply