Katikkiro agenze ku Palamenti okungubagira Sipiika

Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuse ku Palamenti enkya yaleero Katikkiro era nayanirizibwa Sipiika Anita Among Annet, omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, Ssentebe a’Ababaka abava mu Buganda Hon. Muwanga Kivumbi wamu ne Baminisita wamu n’Ababaka ba Palamenti ab’enjawulo.
Katikkiro agenza kukungubagira Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah eyava mu bulamu bw’ensi eno. Katikkiro awerekeddwako Owek. Ahmed Lwasa, Owek David Kyewalabye Male, Owek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, ne Omukungu David Ntege.
Leave a Reply