Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okuyigiriza abaana okunywa kaawa, bakule nga bamutegeera, bamwettanira, abantu bafune emirimu egimwekuusaako, awamu n’ensimbi beeyimirizeewo.
Bino abyogeredde Wakiso, bw’abadde aggulawo ekirabo kya Kaawa ekya Loyz Coffee, ekya Aloysius Ssemmanda, omuweereza wa Kabaka.
Awakanyizza abagamba nti kaawa alwaza entunnunsi, z’agambye nti ziva ku kukabiribwa, okugayaalira dduyiro, ate n’oluusi zitambulira mu musaayi. Abantu abawadde amagezi bayige okwewummuzaamu, bakendeeze ku kukabirirwa.