Katikkiro akwasiddwa ennyumba Buddukiro olwaleero

Omumyuuka w’Omukulembeze wa National Unity Platform owa Massekkati Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mukuuma Ddamula, Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasiddwa mu butongole enyumba Buddukiro – enyumba entongole eya Pookino.
Enyumba eno yazimbwa mu 1936 kyokka nedda mu mikono gya gavumenti oluvanyuma lw’okuwerebwa kw’Obwakabaka mu 1966.
Tweebaza Pookino, Owek. Jude Muleke, eyawoma omutwe muntekateeka z’okuddabiriza enyumba eno.
Buddukiro etujjukiza ekyeejo, okwonoona, ettima n’effubitizi ebibadde mu ggwanga lino emyaka egiyise. Banna Buddu okwevaamu nebaddaabiriza enyumba eno kitujjukize obutaddamu kukkiriza munnabyabufuzi yenna okuddamu okukolera ekyeejo mu by’obufuzi n’obukulembeze bw’eggwanga lyaffe.
Bannaffe aba National Resistance Movement – NRM bagezaako okugaana okusasula Buganda byebanja nga beerabidde nti kasita weyita Gavumenti, okakatwaako okusasula amabanja gosanze.
Tutujja kukoma kubanja mugabo gwaffe okuva mu Gavumenti era tusuubiza Buddu n’Obuganda nti eddoboozi lyaffe terijja kuvumbeera kuba byonna ebiri ku mmeeza kwebasalira ebinakolebwa, kuliko entuuyo za Buddu.”

Leave a Reply