Katikkiro akyaazizza Minisita Magyezi

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nkyazizza Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Gavumenti ya wakati Hon. Raphael Magyezi akyaddeko e Mengo. Mbadde wamu ne Baminisita abatwala Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka okuli Oweek Christopher Bwanika n’omumyuka we Oweek Joseph Kawuki.
Twogedde ku bintu bingi omuli okuddiza Obwakabaka embuga z’Amasaza n’Amagombolola. Waliwo obwetaavu okuteeka mu nkola ebyo ebyakkiriziganyako mu ndagaano ya 2013 wakati wa President Museveni ne Kabaka nga lisimbye mu tteeka lya 1993 eligamba nti Obwakabaka buziddwawo mu bitundu gyebuli n’ebyobugagga bwabwe, era ebyo ebitakkomyewo bijja kudda mu kuteeseganya.”
Leave a Reply