Katikkiro asiimye ab’ennyumba ya Katikkiro Nsibirwa

Katikkiro Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde ayogera ku mukolo gw’okujaguza nga bwegiweze emyaka 100 bukyanga Ssetendekero wa Makerere University atandikibwawo, avuddeyo nategeeza nga bwagenda okuweza emyaka 9 ng’akutte Ddamula ku Lwokuna lwa wiiki ejja, byonna byasobodde okukola abikoze lwakuba alina ebibegaabega by’abazira ab’amaanyi abaamusooka kwayimiridde nga Martin Luther Nsibirwa abasima omusingi.
Katikkiro asiimye abafamire yeyali Katikkiro Martin Luther Nsibirwa olw’okukuuma omukululo gwe okutuuka essaawa ya leero. Ono ategeezezza nti singa tekubadde kulafuubana kwabwe tewandibaddewo nsonga ekubaganyisa birowoozo okumujjukira.
Leave a Reply