Katikkiro asiimye obwakaba bwa Bubirigi

Katikiro Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwe Bubirigi kyakulabirako eri engeri Obwakabaka gye bulina okugasaamu abantu baabwo ensangi zino nga butandikira mu kukuuma ennono n’obuwangwa bwabwe ssaako n’okutumbula emirimu gy’enkulaakulana.
Bino yabyogedde mu kiro ky’Olunaku lw’eggulo bweyabadde Ku bijaguzo by’ekitebe kya Bubirigi eky’emyaka 2O gyekimaze mu Uganda ssaako n’okujjukira olunaku lwa Kabaka waabwe….
Mayiga yayongedde n’ategeza nti Bubirigi ng’eggwanga litambulizibwa Ku musingi gwa Federo ng’ebiteeso Ku nsonga eno nga bwebitandise okudda mu ddiiro kyetaaga eky’okulabirako ng’ekya Bubirigi okulaba engeri gyebatambulamu.
Minisita wa Sayansi Dr. Elioda Tumwesigye yeyakikiridde gavumenti n’ategeeza nga bwatunuulidde enkolagana mu bya sayansi ne tekinologiya okusobozesa enkulaakulana era bwatyo n’akulisa Omubaka w’eggwanga lino mu Uganda, Hugo Verbist ne bannansi banne olw’okutuuka Ku lunaku luno.

Leave a Reply