Mu kwogera kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga aliko ensonga ez’enjawulo zasabye abaami b’Amasaza okunywererako okusobola okutambuza obulungi obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa.
Ensonga zezino;
✓). Okubeera obumu ne bebakola nabo.
✓). Abasbaye bezimbemu omwoyo ogwokukolera awamu nga baguzimba ne mu bebakulembera kino kijja kubasobozesa okutuuka ku bantu bangi ne mubaweereza bonna era kibasobozese nokwenyigira mu nteekateeka zobwakabaka.
Okweyisa obulungi kikulu nnyo mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa.
✓). Abasabye bakolagane bulungi nabakulembeze ba Gavumenti eya wakati, kubanga bayambako mu ntambuza y’emirimu. Agasseko nti ssi kibi okukolagana nabo naddala abo ab’emyoyo emirungi, era enkolagana eno ejja kuyamba okutuusa obuweereza eri abantu mu byalo.
✓). Abasabye bakole ekisoboka okutabaganya abantu. “okukolonda kwaleetera abantu ebiwundu, mubakumekume ebyobufuzi bireme kubamalako mirembe”.Bwagambye
✓). Era abasabye bwebaba balonda abantu bebakola nabo, bakulembeze busobozi okwewala okuzingamya obuweereza. “Ekitulemesa okulaakulana mu Africa, bangi abakulembeze baleeta baaluganda mu bifo”.
✓). Abasabye bettanire nnyo tecnologiya kubanga ayanguya emirimu.
✓). Abasabye bafube nnyo okuggusa emirimu mubiseera ebigere era bakole alipoota, beewale okulagalaganya.
Abasabye betunulemu mu ngeri gyebatambuzaamu emirimu.
✓). Abasabye bazuule eby’obugagga by’obwakabaka ebiri mu bitundu Kabaka byeyabakwasa, babisse ku lukalala ate babyeyambise okulaakulanya ekitundu ekyo.