KATIKKIRO ASISINKANYE ABAAMI B’AMASAZA N’ABASABA OKUNYWEZA OBUMU MU BANTU BA KABAKA

Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, asabye abaami b’Amasaza okunyweza obumu mu bantu be bakulembera kibanguyize okuweereza.
Bino Katikkiro abyogedde enkya ya leero bw’abadde asisinkanye abaami ab’Amasaza n’abamyuka baabwe ku Bulange. Agambye nti Omwami w’Essaza alina okukungaanya n’okukumaakuma abantu ba Kabaka mu ab’ebiti eby’enjawulo omuli; eddiini, emyaka; eby’obufuzi, n’amawanga.
Abasabye okukolera awamu emirimu eyo mu Masaza gaabwe. Abawadde amagezi bazimbe n’okunyweza ekitongole ekiwanika kibayambeko mu kutambuza emirimu gya Kabaka. Abasabye balondoole emirimu egikolebwa mu Ggombolola zaabwe okukakasa nti emirimu gyonna gitambuzibwa bulungi, era nga n’abazirimu banywevu bulungi mu bifo byabwe, awamu n’okukuuma ebintu by’Obwakabaka byonna.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Oweek Christopher Bwanika, agambye nti mu emyaka 9 Katikkiro gy’amaze, asitudde Buganda era gy’eraga walabika. Yerbazizza Katikkiro olw’okusisinkananga Ab’Amasaza buli mwaka, kuba kyongera embavu mu baami ba Kabaka.
Leave a Reply