Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, mu kiro ekikeesezza olwa leero asisinkanye abavubuka ba Buganda ababeera e Bungereza nga bakola emirimo egy’enjawulo.
Ensisinkano eno ebadde ku School of Orient and African studies eya University of London.
Abasabye okukozesa obukugu bwe bafunye okwekulaakulanya n’okwetumbula ate n’okubukozesa okukola obulungi ennyo emirimu gye bakuguseemu, basobole okuleka omukululo.
Ne wankubadde nga abasinga obungi baafuuka bannansi b’e Bungereza olw’okuzaalibwa eyo oba n’okulwayo ennyo, Katikkiro abakuutidde okusigala nga bawuliziganya n’abenganda zaabwe mu Uganda, kibayambe okuyunga oluganda kuba eno gye basibuka.
Ensisinkano yeetabiddwamu Oweek. Joseph Kawuki; Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma; Omulangira Dawudi Ggolooba; Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe; Abataka: Nakigoye, Walusimbi,Ggunju, Kyaddondo, ne Kasujja; Bassenkulu: Omuk. Simon Kaboggoza – BLB; Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Oweek. Hajji Mutaasa Kafeero; Oweek. Rashid Lukwago, oweek. Hasifah Nalweyiso, Omuk.Jeff Sserunjogi, n’abantu abalala bangi.