Katikkiro asisinkanye ebibiina by’abavubuka ba Buganda n’abakubiriza ku by’okwekulaakulanya.
Bwabadde ayogerako gyebali, Katikkiro abakubirizza okwettanira enkola ya Fissa, Tereka, Siga, basobole okwekulaakulanya bagobe obwavu. Asabye buli kibiina okuggulawo akawunta mu Essuubiryo Zambogo Sacco batandike okutereka kubanga kino ky’ekiseera ekituufu eky’okutandikiramu bave mu kutunuulira ebisibu byebalowooza nti byebibalemesa okutandika business zaabwe. Agambye nti ekigendererwa mu kino kwekulaba nga abavubuka baliko kyebakola ekisobola okubaleetera enkulaakulana.
Mu nsisinkano eno, omuvubuka Sserwadda Abdul Karim, nga ye Ssentebe wa Kina-Kwekulaakulanya Sacco eye Kinaawa, asomesezza abavubuka engeri gyebayinza okwekulaakulanyamu nga batandika n’akatono kebalina wamu n’okugumira ebisomoozo.
Minisita w’abavubuka, Emizannyo n’okwewummuza, Henry Kiberu Sekabembe asabye abavubuka okuva mu kulera engalo wabula bakozese amagezi Katonda geyabawa batandike okubaako ne kyabakola.
Ensisinkano eya buli mwaka, Katikkiro mwayita okutuusa obubaka eri abavubuka n’abakulembeze b’ebibiina ebibatwala.