Katikkiro atenderezza obuyiya bwabayizi ba UCU.

Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza obuyiya bwabayizi ba Uganda Christian University e Mukono naasaba abasomesa bawe abayizi ekyanya bakuze ebitone byabwe.
 
Katikkiro abadde yeetabye ku mukolo gwa “OPEN DAY”, olunaku ebitongole (faculties) mwebyolesezza ebyobuyiya byebakoze mu mwaka oguba guyise.
 
Katikkiro agambye nti ensi ekyuuse nnyo olwa tekinologiya aliwo nagamba nti kirungi amatendekero okuba n’enteekateeka ya tekinologiya kubanga n’emitimbagano egiriwo ennaku zino gyakolebwa bayizi nga bali mu university. Asinzidde wano naasaba abayizi baweebwe omukisa basobole okwejjamu okutya babeere bayiya. Agamba nti omwana bwalabibwamu ekitone kisaanye aweebwe ekyanya akikuze, ate bwaba agudde aweebwe omukisa addemu yetegereze.
 
Katikkiro asoose kulambula midaala abayizi kwebooleserezza obukodyo obwenjawulo bwebakozesa okwongera omutindo ku kusoma kwabwe.
 
Atongozza akazannyo ka Dr. Ssenyonnyi challenge akawakanirwa abayizi okwongera okwojiwaza obwongo bwabwe nga bayita mu kuyiya okwenjawulo.
 
Katikkiro awerekeddwako; Ssaabawolereza era Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Owek Christopher Bwanika, Minisita w’amawulire, Lukiiko, cabinet, Abagenyi era Omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, n’Abakungu ab’enjawulo okuva e Mengo ne mu Gavumenti ya wakati.
Leave a Reply