Luwalo Lwaffe
Katikkiro atikkudde abantu ba Kabaka okuva mu magombolola ge Kyaggwe, Ssingo, n’amasomero g’omu Busujju oluwalo oluweredde ddala obukadde 47.
Amagombolola gakulembeddwamu abaami ba Kabaka nga bali wamu ne bannabyabufuzi okuva mu bitundu byebatwala.
Mu kwogerako gyebali, Katikkiro enteekateeka obwakabaka zebuliko tezisobola kugenda mu maaso nga mu nsi temuli butebenkevu. Kino kyeyolekedde mu alipoota ezenjawulo abaami b’amagombolola zebamuwandiikira ezirimu ettemu, okukwata abakazi, okubba ebirime n’ebisolo by’abantu, n’okukabasanya abaana.
Kino Katikkiro akitadde ku bitongole ebikuuma ddembe obutaba nabikozesebwa wamu n’obukugu obumala okukwata abatemu naabo abeenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly’omuntu.
Asabye Gavumenti esse essira ku butebenkevu kubanga ensonga eyinza okujiviirako akabasa singa tekolebwako mu bwangu.
Ku nsonga y’oluwalo, Katikkiro ategeezezza nti enkola eno ejjayo bulungi nti olugero olugamba nti “Enjovu Teremererwa masanga gaayo” nga kino abantu ba Kabaka bakiragidde mu kujjumbira okukiika embuga. Asabye abantu okwerwanako nga bwebalinda federal newankubadde obwakabaka tebukungaanya musolo tekibugaana kukola mirimu mirala.
Owek Joseph Kawuki ategeezezza nti abantu kati bategedde amakulu g’oluwalo era bajjumbira okusinga emyaka egiyise.
Amagombolola gonna galeese obukadde obusobye mu 47.
Mu galeese kuliko;
Kyaggwe
Mumyuka Nakifuma 3, 600,000
Ssaabaddu Nanfumbambi 9,455000
Nakisunga Mutuba 1. 1,770,000
Mutuba IV Kawuga 11, 855,000
Mutuba II Najjembe 750,000
Mutuba IV Nyenga 5,250,000
Mutuba VII Kawolo 4,610,000
Mutuba XIII Koome Kyaggwe
Ssingo
Mutuba XII Kibiga 1,270,000
Kiboga district council 3m
Busujju schools 1,700,000
Busujju
Amasomero gonna awamu okuva mu Busjju. 1,700,000