Katikkiro atikkudde Oluwalo okuva mu Magombolola ag’enjawulo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atikkudde Oluwalo okuva mu Magombolola ag’enjawulo agavudde mu Masaza, Kyaggwe, Mawogola ne Busiro
Bano baleese oluwalo olusobye mu bukadde 13
Katikkiro asinzedde wano naasaba abaami ba Kabaka okukola emirimu gy’obwakabaka nga bannyinijo era tebakitwala nti bakola bwannakyewa, eby’obwannakyewa byaggwawo.
Ategeezezza nti ekizibu kya Uganda okuva kumeefuga kiri mu kulonda, munda mu bibiina ne mu kalulu ka bonna era omuntu ayagala okusunsula ebizibu bya Uganda atunuulira kulonda.
Awadde eky’okulabiraki olw’ebikolwa ebyefujjo wamu n’ebyettemu ebyalabikidde mu kalulu ka NRM.
Kino akitadde ku kalulu ka kawenkene Obote bwebaali bagenda okumulondera mu Parliament okusobola okumujamu obwesige era wano weyalumbira Olubiri lwa Kabaka olwe Mmengo bwatyo mu mwaka gwa 1967 bwatateekawo kalulu kano ekyaleetawo effuga bbi mu ggwanga ..
Asabye govt okutekaawo embeera abalonzi jebanabirako obwenkanya wamu namazima mu kalulu kano.
Owek Joseph Kawuki agambye nti olw’enkolagana ennungi eriwo w’amagombolola gano ne Woofiisi ebatwala, ebizibu byebalina bijja kwanguwa okugonjoolebwa.
Amagombolola gonna awamu galeese Obukadde 13
Leave a Reply