Katikkiro atongozza empaka za Volleyball ez’amazaalibwa ga Kabaka.

Guno gwe mulundi ogw’okusatu empaka zino nga zizannyibwa okuva Owek Twaha Kaawaase lweyazitongoza mu 2017.

Bwabadde atongoza empaka zino ku Bulange, Katikkiro agambye nti obwakabaka bwenyigira mu mizannyo olw’ensonga enkulu mukaaga.
1). Okuleetawo enkolagana mu bantu.

2). Okugatta abantu n’okuleetawo emirembe/ obwa sseruganda.

3). Okunoonya ebitone naddala mu baana abato n’abavubuka wamu n’okubayamba obutava ku mulamwa.

4). Emizannyo gireeta enkulaakulana eri abo abagyenyigiramu.

5). Okulaakulanya obuwangwa bwaffe n’ennono yaffe kubanga Kabaka y’entabiro yebyo byetukkiririzaamu.

6). Emizannyo gitukuuma nga tuli balamu.

Ye Ssentebe w’akakiiko akateekateeka empaka zino, Okira Edward ategeezezza Katikkiro nti baagala omwaka gwa 2021 obwakabaka obw’enjawulo okuva mu Uganda ne ku lukalu lwa Africa, bubeere nga bwetaba mu mpaka zino okwongera okuzifuula ez’amaanyi.

Minisita w’eby’emizannyo mu bwakabaka Henry Kiberu Sekabembe, agambye nti omuzannyo gwa Volleyball gwegumu ku mizannyo emitono egigatta abantu ku buli mutendera omuli; abaana, abakulu, abakadde, abayivu n’abatali bayivu, abafudde omuzannyo guno ogwamaanyi.

Ssenkulu wa Kampala Capital City Authority, engineer Andrew Kitaka, asinzidde wano neyeebaza obwakabaka okuteekawo enkolagana ennungi ne KCCA nga balaba kikulu nnyo okujaguza amazaalibwa ga Kabaka kubanga Buganda ne KCCA baweereza abantu bebamu era nga wano webasinzidde okuvujjirira empaka zino n’obukadde kkumi (10m).

Leave a Reply