Katikkiro atongozza enkola ya Agroduuka eyamba abalimi okutunda ebyamaguzi byabwe nga bayita ku mutimbagano nebasobola okufuna abaguzi.
Enkola eno agitongolezza ku kyalo Katiiti e Mawokota.
Omukutu guno gwa ggulwawo Omwami Bazilio Mwotassubi Biddemu nga ali wamu ne banne bwebaddukanya emirimu gy’omutimbagano guno.
Katikkiro akalaatidde abavubuka okwejjamu okutya wabula bafune obumanyirivu mu byebakola basobole okugaggawala. Agasseeko nti ekimu ku bizibu ebisinga okukosa abalimi mu Buganda lyebbula ly’obutale, era obwakabaka bugenda kuwagira enteekateeka eno okulaba nga omukutu guno gutumbula embeera y’eby’obulimi mu Buganda.
Ye Minisita w’eby’amawulire era Omwogezi w’obwakabaka Noah Kiyimba, asanyukidde enteekateeka eno era yeebazizza Katikkiro olw’omulimu omunene gwakoze okulondoola abavubuka abalina kyebeekoleddeko.
Mu ngeri yeemu, Bazilio Mwotassubi Biddemu, akulira enkola ya Agroduuka, agambye nti baagala okukozesa enkola eno okwongera okwagazisa abalimi okufuna obukugu obumala wamu n’okulekerawo okugula ebirime ebitali ku mutindo. Akubirizza abavubuka okwekkiririzaamu mu buli kimu.
Katikkiro atemye evuunike mu kifo awagenda okuzimbibwa ekizimbe ewanaddukanyizibwa emirimu gyonna egya Agroduuka.
Omukolo gubadde mu Gombolola ye Kituntu e Mawokota ku kyalo Katiiti.