Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Kaweefube w’Okukyuusa endowooza y’abantu eri ensoma y’abaana mu Uganda.
Agambye nti buvunaanyizibwa bwabazadde okujja endowooza mu baana nti bwofuna ssente tekikwetaagisa kuddayo kusoma. Agambye nti omwana okulowooza nti ssente zaafunye mu katale bwebugagga obwenkomeredde bwanoonya kukulaga nti endabaye ey’ebintu ya kumpi nnyo wabula omwana asaanye amanye nti okugenda tetunoonya bugagga bwokka wabula tunoonya okumanya n’obugunjufu, era buvunaanyizibwa bw’abazadde okumanya ensonga zino nebazikolako. Agasseeko nti obuyigirize nabwo bufuna ate osobola n’okusuubula nga oli muyigirize.
Mu ngeri yeemu ategeezeza nga Obwakabaka bwebukoze enteekateeka y’okugema abantu Ssenyiga Kolona okwekikungo nga 29th ne 30th Gatonnya 2022.
Omukolo gwetabiddwako Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Ssaabawolereza w’Obwakabaka nga yakiikiridde Minisita webyenjigiriza Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Ssentebe wa Bboodi Muky. Deborah Zawedde, Oweek Kiwuka Viola, ne banna byanjigiriza okuva mu bitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo.