Katikkiro atuuse e Scotland mu okulaba abaayo

Katikkiro Charles Peter Mayiga, atuuse bulungi e Scotland, mu lugendo lw’aliko olw’okulambula abantu ba Kabaka mu Bulaaya ng’abatuusaako ebifa Embuga n’okufuna ebirowoozo byabwe ku Nnamutaayiika omuggya ategekebwa.
Katikkiro eyatambulidde ku nnyonyi ya KLM 1481, atuuse ku kisaawe e Glasgow, mu kiro ekikeesezza olwaleero era ayaniriziddwa: Omubaka wa Kabaka e Bungereza, Oweek. Ronald Lutaaya; Mky. Rebecca Lubega Bukulu ow’Eggombolola ye Scotland ssaako abamu ku bali ku lukiiko lwa Gombolola eyo okuli Martin Kalemba akulira ebyenkulaakulana, Eddy Mayanja ow’Abavubuka, Paddy Mikasa Omuwanika, Rebecca Nansasi Naalongo ow’Abakyala, ne Nasser Lule ow’Amawulire.
Awerekeddwako Oweek. Joseph Kawuki, Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma, Oweek. Hasifah Nalweyiso, Omutaka Walusimbi; Omutaka Nakigoye, Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Omuk. Simon Kaboggoza, Omuk. David Ntege, ne Muky. Allen Namukasa Kafuluma.
Ku bugenyi buno, Katikkiro asuubirwa okusisinkana abantu ba Kabaka ababeera e Scotland ate n’okusisinkana omubaka wa Naabakyala wa Bungereza mu kitundu ekyo ayitibwa Lord Provost.
Leave a Reply