Katikkiro ayanjulidde Obuganda Olukiiko olwateekebwawo okuzza amaanyi mu Mipiira gy’Ebika
Olukiiko lukulemberwa Mw. Raymond Kabugo namyukibwa Sam Mpima.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti wano mu Buganda ffenna ekituyunga ku KABAKA by’Ebika kubanga ayitibwa Ssaabataka kubanga yakulembera abataka b’obusolya. Nolwekyo mu kusamba omupiira kiba kyangu nnyo okugatta abaganda, okubaagazisa Ennono n’obuwangwa bwabwe, okubagazisa ensonga zeggwanga lyabwe ate nokwenyigiramu.
Ayongeddeko nti wabaddewo obwetaavu okuddamu okutunuulira engeri omupiira gw’Ebika gyegutegekebwamu, omuli, omutendera, obukugu, ensonga zensimbi, abawagizi, nga bwotunuulira ensonga ezo zonna zetaaga abakugu okuzikolako.
Kamalabyonna ategeezezza nti baagala ebisaawe biddemu bijjule nga bwegwali mu myaka gya 2000.
Olukiiko era lugenda kutunuulira n’omuzannyo gw’abawala ogwokubaka kubanga nagwo gwalina abawagizi bangi naye gugenze guggwamu amaanyi.
Agambye nti okubaka kusobola okufunira tiimu ya She Cranes abazannyi abalungi abayise mu mpaka z’okubaka ez’Ebika.
Katikkiro alaze nti entekateeka nga ewedde, ebitone byabazannyi mu Bika ebyenjawulo bijja kwongera okweyoleka.
Katikkiro asinzidde wano naasaba buyli muntu yenna anaatuukirirwa olukiiko luno alwanirize era aluwe obuwagizi kubanga ekinaakolebwa tekiyamba mizannyo mu Bwakabaka bwa Buganda bwokka naye kiyamba eby’emizannyo mu Uganda yonna.
Abalala abali ku Lukiiko;
Sulaiman Ssejengo (Ssentebe w’Empiira gy’Amasaza), David Katabira (yaliko omukomonsi wa firimbi), Sam Mpoza (wa byamizannyo ku NTV), Omutaka Robert Mujabi, Hassan Badru Bziwa, ne mukyala Rose Kaala