Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde kulambula mirimu egikolebwa mu ggomolola eya Mutuba III Makindye.

Enkya ya leero Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde kulambula mirimu egikolebwa mu ggomolola eya Mutuba III Makindye.
Asookedde ku kifo ekisanyukirwamu ekya Climax Entertainment Center, ekya Mw. Raphael Lule, gye bamwaniririzza mu mizira, era naakiggulawo mu butongole. Asiimye nnyo emirimu egikolebwa wano, n’asaba bannyini kifo n’abakozi okukuuma n’okunyweza omutindo gw’obuweereza eri abantu.
Oweek. Joseph Kawuki, Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, naye atambudde ne Katikkiro, era asabye bannabitone okwongera obujjumbize bwabwe mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Kaggo, Agnes Nakibirige Ssempa, abadde awamu n’abaami ba Kabaka okwaniriza Katikkiro, alopedde Katikkiro obujjumbize bw’abaweereza b’eggombolola, ate nga bakolagana bulungi n’abantu, ekibayambye okutuuka ku nkulaakulana erabibwako.
Ow’eggombolola, Haji Musa Ssemmambo, asiimye nnyo Katikkiro olw’obuweereza obulungi obuzuukusizza abantu okwerwanako mu myaka 9.
Bannanyini kifo basiimye nnyo Katikkiro olw’ebigambo bye ebizzaamu abantu amaanyi, ne bakola, era Buganda etambula edda ku ntikko.
Leave a Reply