Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ebyuuma ebizikiriza omuliro mu Masiro e Kasubi. Bw’abadde atongoza ebyuma bino olwaleero e Kasubi mu masiro, Katikkiro yeebazizza Gavumenti ya Japan eyavujjiridde enteekateeka eno, bwe yawaayo $500,000, ng’eyita mu UNESCO, okugula ebyuma n’okubisiba mu masiro.
Agambye nti abaweereza mu masiro basomeseddwa ku nkozesa y’ebyuma, kyokka abakugu baakugira basigalawo, babangule n’abasula mu masiro.
Katikkiro annyonnyodde nti omulimu ku Muzibu-Azaala-Mpanga, gutambudde mpola, olw’emitendera, obulombolombo n’ennono ebiyitwamu okugazimba, ssaako n’okukozesa abantu abatuufu ab’ennono ku mulimu ogwo.
Katikkiro e Kasubi abaddeyo ne baminista awamu n’abakungu abavudde ku kitebe kya UNESCO, e Paris, France.