Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, atenderezza emirimu gy’omugenzi Tanansi Bazzekketta gw’agambye nti abadde wamugaso nnyo eri Ekereziya; Obwakabaka, ne ggwanga lyonna okutwalira awamu.
Bino Katikkiro yabyogedde akawungeezi ka ggyo bwe yabadde yeetabye mu Missa eyategekeddwa mu maka g’Omugenzi e Lubaga. Katikkiro yagambye nti Omugenzi abadde okwatizaako nnyo Ppookino ku mirimu gy’Obwakabaka e Buddu, abadde mujjumbize eri Ekereziya, so nga awadde omusolo eri gavumenti ebbanga lyonna ly’amaze ku nsi ng’akola emirimu gye egy’enjawulo.
Ya kuutidde abaana b’omugenzi okukuuma n’okutwala erinnya lya kitabwe mu maaso kuba yabateekateeka bulungi nnyo nga ayita mu kubasomesa. Yabasabye obutagayaalira mirimu gya kitaabwe girime kusaanawo naye.
Katikkiro yakubirizza abantu obuteekubagizanga nnyo nga bafunye ebibasoomooza, wabula n’abawa amagezi okusitukirangamu amangu ddala basalenga amagezi agabavvuunusa ebisoomoozo ebyo.
Yannyonnyodde nti Omugenzi yafuna ebisoomoozo ebiwerako mu mirimu gye, kyokka teyaggwamu ssuubi natandika wooteeri ya MariaFlo nga asussizza emyaka 50, ate n’ekola bulungi nnyo ddala.
Ekitambiro kya Missa ekyo kyakulembeddwamu Fr. Deogratius Kiibi, Bwanamukulu w’e kigo ky’e Mpigi, eyakubirizza abantu okukola ennyo balekenga omukululo nga bafudde, nga omugezi Tanansi bw’okoze.
Omugenzi Tanansi Bazzekketta yafa ku nkomereyo ya wiiki ewedde era nga ajja kuziikibwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno.
Ku mukolo guno Katikkiro yawerekeddwako minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza mu gavumenti ya Kabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu.
Omugenzi yannyaniriza week ewedde e masaka. Abadde atwaniriza ye kennyini obudde bwonna. Abadde atunda ebizimbisibwa. Batono nnyo ababaako ky’ebakola ne kigalangatana ne basobola okuddamu okusituka. Naddala nga ye bwe byamugalangatanako nga ate amaze okufuna ssente nnyingi nnyo. Abantu bangi baggweramu ddala essuubi ne bataddamu kubaako kintu kyonna kye bakola. Tukomye okwekubagiza. Bwosanga ebikusoomooza, sala amagezi obivvuunuke. Eyo si yenkomerero. N’okumalirira. Abantu batono nnyo nga bassussizza emyaka 50 okutandika ekintu kye batabaddemu ne kitambula nekiyitamu. Omugenzi wadde afudde, aliko ebyokuyiga bingi. Ennaku zino tugamba nti temutegekera baana abaana mu bateeketeeke. Bw’oteekateeka omwana, asobola n’okwekolera ebibye nga ggwe tatunuulidde bibyo. Ate n’ebibyo bwe bibeerawo, asobola okubirabirira n’okubikuuma. Abantu bangi mukola abaana ebyejo. Bwe bamala okusoma eyo mu masomero ag’ebbeeyi, bwe badda mubafuula ba maneja nga tamanyi na bwe bakwata bantu. Mukuume erinnya lya taata wammwe kuba yabateekateeka. Ayambye nnyo ppokkino mu mirimu gya Kabaka. Abadde wa mugaso nnyo eri emirimu gya Buganda ate ne Gavumenti eyawakati kuba omusolo gw’asasudde okuva munda mirimu gye okuva lwe yatandika mungi nnyo. Abadde wa mugaso nnyo eri Ekereziya.