Kayihura asattizza ab’amawulire ku Palamenti

Wabaddewo katemba atali musasulire ku Palamenti eggulo lya leero , Bannamawulire abagasakira ku Palamenti bwebatanudde emisinde nga bakkirira bwebambuka nga bawenja buseenene Ssaabaduumizi wa Police General Kale Kayihura abafuuwe ku ago agabadde mu kakiiko ka Palamenti akeekenneenya abo abaweereddwa Pulezidenti ebifo.

Mu Kakiiko kano Kayihura gyamaze essaawa eziwera ebbiri, bwavuddeyo bannamawulire ababadde bamulinze n’abatebuka olwo nebatandika okumuwenja obuseenene nga bwebakkirira ate nga bwebambuka olwo nebafuuka ekisekererwa nga buli omu yeebuuza kyebabadde .

Wabula oluvannyuma lw’okumuyiggira akaseera , bamaze nebamugwako era n’ayogerako gyebali era nga mu akaseera kano abadde yeeyita omugole abategeezezza nti tayinza kubannyonnyola kawonvu n’akagga ku bibaddeyo naye yeenyumiriza mu Police gyazimbye okumala emyaka kati 12.

Leave a Reply