Abasirikale ba Poliisi 6 nga ku bano kuliko eyali adduumira Flying
squard Herbet Muhangi , Nickson Agasirwe, Col. Nduhura Atwooki
balabiseeko mu maaso ga Ssentebe wa Kkooti y’amaggye ku misango
egifaanaganako n’egyeyali Omuduumizi wa Poliisi Ge. Kale Kayihura.
Gen. Kayihura azeemu okuvunaanibwa nga taliiwo mu kkooti y’amaggye.
Omuwaabi wa Gavumenti Maj. Rapheal Mugisha akyuusizza mumpaaba nayongera
ku bavunaanobwa nebawera 77. Kino kitegeeza nti Gen. Kayihura naye
wakulabikako mu Kkooti y’amaggye nga 11-Feb-2019 n’abalala 7
bavunaanibwe emisango okuli okulemererwa okukuuma eby’okulwanyisa nga
bawa Kitatta emmundu, okulemererwa okunnyonyola emmundu zebawanga
ebitongole bya Poliisi eby’enjawulo byezakolanga wamu n’okuwamba
n’okuzaayo Bannansi ba Rwanda ku kifuba.