Ababaka ba Palamenti abava mu ttundutundu lya Kampala bawaddde KCCA nsaleesale wa nnaku ssatu zokka nga balayizza Omuloodi wa Kampala , ba Meeya ba amagombolola ne bakansala .
Ssentebe waabwe Latif Ssebaggala agamba nti yeewuunya lwaki KCCA yayongezzaayo omukolo gw’okulayiza abakulembeze ba Kampala okwabadde okwokubaayo leero nga beekwasa nti abakulembeze abamu tebannateekebwa mu kiwandiiko kitongole .
Ssebagala attaanya nti olw’okuba kumpi abakulembeze ebitundu 97 ku 100 bali mu kiwandiiko kino , abo balayire nga abalala bwebalinda kubanga era eyo y’enkola ebeerawo bulijjo .
Wabula kinajjukirwa nti ku lwokusatu lwa wiiki eno Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju yategeeza nti baali bongezzaayo okulayia kw’abakulembeze ba Kampala olwensonga abamu baali basigalidde nga amannya gaabwe tegagenze mu kiwandiiko ekitongole .
Ye omubaka akiikira amasekkati ga Kampala Muhamad Nsereko agamba nti okukeerewa okulayiza abakulembeze bano kyakugootanya embalirira ya Gavumenti .
Yadde nga ebyo biri bityo ko akakiiko akakulira ebyokulonda eggulo kaafulumizza ekiwandiiko eri KCCA ekikakasa nti abakulembeze bonna bamaze okuteekebwa mu kiwandiiko ekitongole .