Kampala Capital City Authority ekakasizza abantu ababeera mu bifo ebiriraanye omwala gwa Lubigi omuli Bumali – Mali, Bokasa , St. Francis ne Katoogo wamu n’ebitundu ebirala nti babeere bagumyu ng’asula wansi kubanga enteekateeka z’okubaliyirira zikolebwako .
Kino kiddiridde enteekateeka ezigenda mu maaso ez’okugaziya omwala guno kiyambeko okutambuza obulungi ebikyafu ate kisobozese abalongoosa omwala guno okwanguyirwa omulimu gwabwe .
Bino okubaawo kiddiridde abatuuze mu bitundu bino okuva mu mbeera neboogera ebikaawa ng’omususa ku nteekateeka eno ng’abamu bagamba nti kino kyaliba nga kigenderera kunyaga ttaka lyabwe .
Ng’ayogerako ne munnamawulire wa Lubolggola Simba , Ayogerera ekitongole kya KCCA Peter Kawuju agamba nti abatuuze omutima gubabeere wamu kubanga buli kimu kyakyukolebwa misana ttuku ng’esi eraba . Kawuju era agamba nti KCCA tesobola kubba ttaka kubanga ekyo kitongole kya Gavumenti .