Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu amanyiddwa ennyo nga Ham avuddeyo natangaaza ku nsonga zokuzimba ku mwala gw’e Nakivubo oluvanynuma lw’abantu ab’enjawulo okuli nabalwanirizi b’obutonde bw’Ensi okuvaayo nebekubira enduulu.
Ekiwandiiko ekivudde mu Kkampuni ya Kiggundu eya Ham Enterprises kiraga nti ebizimbibwa byebimu byateekebwateekebwa mu kuddamu okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo okusobola okutumbula endabika y’e Kibuga. Ayongerako nti pulojekiti eno yakirizibwa ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA nti nabwekityo abo ababitambuza nti ebikolebwa tebiri mu mateeka benoonyeza byabwe.
Ham agamba nti ebikolebwa tebiyamba kisaawe kya Hamz Nakivubo Stadium nti wabula nenkulaakulana y’ekitundu n’abantu bonna okutwalira awamu.
Ham era asambazze ebitambuzibwa nti n’amataba agasazeeko akatale ka St. Balikuddembe ku lwomukaaga nti gavudde kukuzimba ku mwala gw’e Nakivubo nga agamba nti byonna ebizimbiddwa tebirina webikoseza ntambula y’amazzi kuba galekeddwawo ekkubo wegayita nga wagazi ekimala.
Ham ayongerako nti abo bonna abekwasa byazimba nti byebivuddeko amataba beebo abalabira okumpi ensonga kuba amataba n’ensonga y’obutonde bw’ensi kifuuse ekizibu eri Eggwanga lyonna.
Kiggundu asabye Bannayuganda okukwasiza awamu naye nga bwebawagira n’ekitongole kya KCCA okulaba nti kikulaakulanya ekibuga. Ayongerako nti tusaanye okwaniriza emikisa egiba gireeteddwa okulaba nti watondebwawo emirimu n’enkulaakulana okusobola okukuza ekibuga ekyeyagaza.
#ffemmwemmweffe