Omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM ow’ebuvanjuba Capt. Mike Mukula avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nanenye ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala Capital City Authority – KCCA nti kyekiviiriddeko amataba agafuuse baanabaliwo mu Kibuga nga kiva kukuwa lukusa bagagga kuzimba mu bifo ebyali bisengejja wamu n’okutambuza amazzi okugatuusa mu nnyanja Naulubaale. Ono anokoddeyo ebifo nga Lugogo, Industrial Area n’ebirala.
#ffemmwemmweffe
KCCA yeviiriddeko amataba mu Kampala – Capt. Mike Mukula
