Kekaseera Bannayuganda mukwasize wamu tweyambule Gavumenti – Norbert Mao

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamateeka n’essiga eddamuzi era Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao; “Kifuuse kizibu okubeera mu Uganda enaku zino olw’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye, so nga sukaali akolebwa wano. Kyanaku nti Bannansi basibiddwa emikono nga babanika emisolo emiyitirivu. Mu byonna ekisinga kwekuba nti tebalina mirimu ekibaviiriddeko okubeera mu bwavu obutagambika mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo. Ekirala nti abantu bakola nnyo nebafuna ssente okutandikawo bu bizineesi obutonotono ate nezigwa olw’emisolo emingi. Obudde butuuse tugambe nti nedda eri obukulembeze obulemeddwa okumalawo ebizibu ebiruma abantu. Tuleme kulekera bitongole n’abantu abalwanirira eddembe mulimu guno, tusaanye twenyigire mu situlago, ebiseera ebyomumaaso biri mu mikono gyaffe.”
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply