Nnamungu w’omuntu yeekulumuludde okwelorera omukolo gw’okutongoza Engule ya Simba 2016.
Kitokose ssikisaanikire akawungeezu ka leero ku Comfort Cottages e Kasangati ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Wakiso nga Engule ya Radio Simba etongozeza n’ekibuuzo ekiggula Ngule.
Abakontanyi 66 buli omu n’endusa ye olwo awamu ne bawera 132, bayingidde mu kifo kino nga bakulembeddwamu Ttiimu y’engule ekulirwa omwami Jimmex Ssemanda wakati mu masanyu,emizira n’enduulu ey’oluleekereeke okuva eri enkumuliitu y’abawagizi ababadde babalindiridde .
Ku mukolo guno gwegumu akulira ebiweerezebwa ku mpewo , Omw. Isaac Mandevu asabuukuludde ekirabo ekigenda okuwangulwa Ssengule oba Nangule wa 2016 nga kya bukadde bwa Yuganda 18 bwe ddu , okwo nga kw’atwalidde n’emmotoka kapyata okuva mu ba Kaye Property Consultant.
Wabula mu kyo ekibuuzo ekiggula Engule kibadde kigenda eri endukusa nga bwe’ekiyita nga olwo eyisizzaawo omukulu okwesogga ennyumba y’engule . Kaye ekibuuzo ekisinze okukyamula abantu kibadde kikwata ku mukulembeze w’abantu ow’amaanyi nga ali mu Kasangati….. Nga ye Col. Besigye ,wano abantu babugaanye essanyu era endukusa eyanukudde kino nebagisitula mu bbaga . Awo nno lindirira olunaku lw’enkya oluvannyuma lw’amawule ku ssaawa ssatu .