Ekitundu ekisembayo ku bbaluwa ya Kyagulanyi;
Oluvannyuma bantwala ku Poliisi y’e Gulu gye banakaka okuteeka omukono ku sitatimenti eyawandiikibwa Omusirikale wa Poliisi Francis Olugo. Oluvannyuma nnazuula nti y’akulira bambega ku Poliisi e Gulu era sijjukira byali mu sitatimenti eno.
Nga bamaze banzizaayo mu nkambi y’amaggye e Gulu ne bansibira ku kitanda ky’ebyuuma empingu kwe bansuzanga. Buli ku makya banzigyanga mu kasenge akamu ne bantwala mu kasenge akalala akakyafu kwe bansibiranga ku kitanda ky’emitayimbwa ne bankuba eddagala eridentera okwebaka.
Nga wayise ennaku nzijukira okulaba Hon. Medard Ssegona ne Hon. Asuman Basalirwa nga bazze okundaba kyokka olw’obulumi bwe nnalimu saasobola kubaako kinene kye mbagamba anti nga n’okwogera nkaluubirirwa olw’obulumi mu kifuba era amangu ddala nga bandabyeko batandikirawo okukaaba olw’embeera gye nnalimu.
Bano baabakkiriza okundabako katono era oluvannyuma abajaasi bansitula ne bantwala mu kisenge gye nasisinkanira abajaasi abanyumidde mu byambalo by’amaggye era nakitegeera luvannyuma nti baali bandeese mu kkooti y’amaggye.
Nga wayise akaseera katono banziggya mu kisenge mwe baali batudde ne banteeka mu namunkanga eyantwala okutuuka mu kifo ekimu gye banteeka mu mmotoka eyanvuga okuntwala mu nkambi y’amaggye e Makindye kkooti gye yali ensidise.
E Makindye gye nasooka okufuna ekyokulya n’ekyokunywa oluvannyuma lw’ennaku nga ssatu. Ennaku ze namala mu nkambi y’amaggye e Makindye abasawo banteeka ku bujjanjabi obw’amaanyi era bano bankubanga empiso kumpi buli we baasanganga.
Olumu nagezaako okugaana n’okubuuza eddagala lye bankuba kyokka nga bankwata emikono ku mpaka ne bankuba eddagala.
Ekigendererwa kyali kya kulaba nti olutuula lwa kkooti oluddako we lutuukira nga ndabika bulungi era lumu bangamba nti singa sikkiriza bujjanjabi olunaku lwa Kkooti ne lutuuka nga ndabika bubi tebagenda kunzikiriza kugenda mu kkooti. E Makindye gye nafunira omukisa okulaba ku mukyala wange Barbie ne Mukulu wange Eddy Yawe, Mikwano gyange, Ababaka ba Palamenti n’abakakiiko kalwanirizi k’eddembe wamu ne balooya.
Mu budde obwo nnali sisobola kutuula yadde okuyimirira nga bankwatirira bukwatirizi.
Mu nkambi e Makindye gye nnategeerera obuwanguzi bwe twali tutuuseeko mu Arua bwe bantegeeza nti Kassiano yali awangudde. Kino kyampa essanyu, amaanyi n’obuvumu kubanga namanya nti abantu baffe bali naffe. Mu ngeri y’emu era bantegeeza ne ku misango Poliisi gyeyali enziguddeko omuli ogw’okusangibwa n’emmundu mu wooteeri. Era gyenategerera ku bigambibwa nti twakuba emotoka ya Pulezidenti.
Kino kyanneewuunyisa ate ne kinneeraliikiriza kubanga nali sikirowoozangako. Kyokka kyewuunyisa nti wadde walieo abantulugunya okutuuka kw’ekyo nafuna abajaasi bangi abeeyisa obulungi ennyo era abakola emirimu gyabwe mu ngeri ey’ekikugu era mu ngeri eyeegombesa.
Kyannuma nnyo mukwano ggwange Yasin okuttibwa ate ne simuziikako. Bambuulira ku mikwano gyange abasibwa era nentandika okubasabira. (Buli eyankyalira nga okwongera nange walingawo abasirikale ba military). Wadde nali musanyufu okulaba abagenyi, bwenateebwa nasoma ebyawandiikibwa abantu abamu abankyalira naddala abantu ba Gavumenti. Nawulira enaku nemanya nti ddala tulina abantu bangi abatalina mazima era nga balumirirwa kwefaako ku byabufuzi.
Mu nkambi y’amaggye e Makindye banzigyayo emirundi ebiri ne bantwala mu ddwaliro lya Kampala Imaging Centre gye banteekeranga mu byuuma era olumu natya nnyo kubanga ekyuuma ekimu kye banteekamu abasawo bennyini baali bakitya kubanga olwali okusindikamu ne badduka ne badda mu kaddirisa gye baasinziira okunnengera.
Bo abasawo baakola kyonna ekisoboka okulaba nga olunaku lwa August 23 lutuuka nga ndabika bulungi era bampaliriza okulya nga bwebandabula nti singa nnemwa okulabika obulungi tebajja kuntwala mu kkooti kweyimirirwa ne bandagira ntume ne Mukayala wange andeetereyo essuuti gye naayambala nga nzira mu kkooti ne mbigaana.
Olumu bankaka okusalako enviiri ne bazisalako ku kifuba eriiso eryali limyuse nalya bankwata ne balissaako eddagala ku kifuba lyerukemu. Bwe banzisa e Gulu nawulira essanyu wadde nali mu kkomera okusisinkana banange bwe twakwatibwa era twalinga be bayimbudde, kyokka waliwo munaffe eyali mu bulumi obutagambika era yazirikira mu kkooti. Twategeezebwa nti omugongo gwe gwakosebwa nnyo. Wadde twali mu bulumi mu kkomera katikiro walyo yalina endongo enkadde gyetwakubanga ne tuyimba ekiro kyonna ennaku zonna okutuuka lwe twaddayo mu kkooti e Gulu ne tweyimirirwa.
Njagala okwebaza ensi yonna eyavuddeyo okutuwagira Gavumenti netutaq n’Omubaka Zaake. Mu ngeri y’emu neegatta ku mmwe mwenna okussa akazito ku Gavumenti okuta Eddy Mutwe n’abantu abalala abasibiddwa olw’ebyobufuzi.