Police enkya ya leero ekedde kuzingako maka g' aduumira Police mu Disitulikiti y'e Buyende, ASP Muhammad Kirumira agasangibwa e Bulenga mu Disitulikiti y'e Wakiso n'ewalirizibwa okusala enzigi okusobola okumuggya mu nju ye mw'abadde yeesibidde.
Kirumira yeesibidde mu nju okuva ku ssaawa kkuminabbiri ez'okumakya oluvannyuma lw'okukitegeera nti abaserikale ba FLYING SQUAD n'abapoliisi abalala baabadde bamaze okugoba mu makaage okumukwata wabula n'abasaba ekiwandiiko ekibawa olukusa okumukwata nga bayanjala ngalo.
Kino kijjide mu kiseera nga akawungeezi ka jjo Afande Kirumira yavuddeyo n'alangirira nga bw'avudde mu kitongole kya Police era agenda kwekolera bintu bye birala omuli okwesimbawo mu by'obufuzi
Wabula mu kiseera nga Police esala oluggi lwe, Kirumira ng'ali mu kyambalo kya Police asobodde okwogerako ne Bannamawulire mu ddirisa n'ategeeza nti yeewunyizza nnyo okuba nti Police ekoze bw'eti n'etamulinda kumukwatira Nagulu gy'abadde agenda okulabikako enkya ya leero ku misango egimuvunaanibwa