Kitalo!
Abantu 6 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 8 nebaddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi ddala takisi eyakazibwako erya Drone bwetomedde loole y’ebikajjo ebadde ku mabbali goluguudo ku luguudo lwa Jinja-Iganga e Kakira.
Akabenje kagudde ku ssaawa nga mwenda ezookumakya Takisi nnamba UBP 574J ebadde eva e Iganga bweyingiridde loole y’ebikajjo nnamba UAF 333B.
Aberabiddeko nagaabwe bategeezezza nti takisa ebadde eva e Namisindwa etomedde loole abantu 6 ne bafiirawo mbulaga.
Mable Asingwire, Kiira Region Traffic Officer, akakasizza akabenje kano.